Chorus:
Nsanyuka (Bwenyingira) Nsanyuka, Nsanyuka bwendaba ngatugenda mu nnyumba y’omukama nnyini bulamu mujje mwena tumusinze oyo lugaba nnyini byonna. (Jjangu ffe tumutendereze, yegyali atulindiridde) x2
Verses:
- Mujje tugende mu nyumba ya Taata. Tumuwenga ekitiibwa n’ettendo.
- Jjangu nga wenna otukula naawe, akuwenga enneema ey’enjawulo.
- Mujje tusinze Katonda Kitaffe, tumuyimbire ennyimba ez’ttendo.
- Mujje tubiibye mu nnyumba ya Taata, yatufuula abaana ab’omuwendo.