TWEBAZE MAPEERA

1.    Twebaze Mapeera ne munne Amansi
Abasaale baffe abaleeta eddiini eno.
Beebale Amansi ne Mapeera,
Beebale abaleeta ekitangaala

2.    Leo omuganzi Paapa mu budde obwo
Ko ne Laviziri be babasindika eno.

3.    Kkumi na musanvu Februari Omwezi,
Lukumi lunaana nsanvu mu mwenda.

4.    Bayita mu nkoola mu bibira bingi,
Mu mayengo mangi ne bagoba e Kigungu.

5.    Basanga Muteesa nga abalindiridde
Nabawa ekyalo ye Lubya mu Kyaddondo.

6.    Basomesa abantu, bawonya abalwadde,
Babonabonanga kyokka nga basanyufu.

7.    Muteesa yafa mangu Mwanga omusika we,
Nayigganya eddiini ng’ayagala eve mu nsi.

8.    Abasomi bangi n’abayigganya atyo,
Abamu nabookya mu kifo Namugongo.
9.    Matia Mulumba ne Karoli Lwanga
Ne banabwe abiri ne bafiirira eddiini.

10.    Abajulizi abo olwafa ekyewunyo,
Eddiini n’etinta n’okutuuka kaakano.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password