NTAMBULA NE YEZU

Ekidd;
Ntambula ne Yezu mu kkubo ly,abalungi effunda.(Kubanga)
Mwoyo w,amaanyi asula munze anyamba
(Bwentyo) x2

1.    Bwe nnali nzaaye yankimayo nandeeta ndi wuwe,
Wamma mpulira ndi muggya ampanirira mulina.

2.    Bwonna obulamu n’obuwayo yabunsaba ndi wuwe,
Byonna ebyange biri mu ye y,alamula nnyini byo.

3.    Bwemba nkaaba ne nsirika, ekisuubizo nkirina,
Omusuubize oyo nnantalemwa nze mpulira mulina.

4.    Wamma nsanyuka ne nnyimba natyaka ndi wuwe,
Asula munze Mwoyo oli ye muyinza asinga.

5.    Nzenna mwewa nnemalayo, nze ndayira ndi wuwe,
Ampa okunywa nze oluberera amaazi ag’obulamu.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *