TUSIMBE FFENNA

Tusimbe ffenna mu kisinde,
Kya mukama waffe Yezu,
Tulimulaba  mu ggulu lye,
Wamu n’abatukirivu.
1.    Ku lwa Batisimu twalagaana,
Okuleka amasitaani,
Twegaana n’ebikolwa byonna,
Ebitusuula mu bubi.

2.    Yezu Era tukulazaanya
Okukwata evanjiri yo,
N’okwebengula ku museemya,
Omanye nga tuli babo.

3.    Yezu ggwe oli katonda waffe
Wekka! Wekka! Ggwe twagala
Obeeranga mukama waffe
Leero n’emirembe gyonna.
4.    Maria! Ggwe nnyina katonda
Era nnyabwe w’abakristu;
Otusabirenga ffe ffenna
Tunywererenga ku Yezu!

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *