Chorus;
Ekitiibwa kibeere eri Katonda, yekka;
Naabo abalungi ye basiimye, emirembe gibeere kubo.
1. Tukusinza, tukutenda anti ebyo byokola Mukama bya ttendo.
2. Katonda Mukama ggwe omuyinza Patri ggwe Kabaka w’eggulu otendwa.
3. Omutiibwa wekka Omwana owa Kitaffe ggwe katugulumize,
4. Ayi Mukama, Kaliga ka Katonda Yezu Kristu Mukama otendwa.
5. Ggwe ajjawo ebibi by’ensi saasira saasira, tuwanjaze tuwulire.
6. Ggw’atudde ku ddyo gwa Kitaffe, saasira saasira tuwanjaze tuwulire.
7. Kubanga ggwe Mutukirivu asukkiridde wekka, ggwe Yezu Kristu.
8. Wamu ne Mwoyo Mutukirivu, mu kitiibwa kya Patri, Amiina, Amiina.
please I need the music on staff to teach my choir.help.