EKITIIBWA Mu Ggulu Ne Mu Nsi Bakutendenga Mukama Katonda

Ekitiibwa kyo wonna mu ggulu n’ensi ffe tukutenda,
N’emirembe ku nsi ku bantu b’alyoye omukama katonda, bamalayika bonna.

1.    Tukutenda tukugulumizatukusinza mukama,
Ggwe bye wakola nga bya buyinza,
Ddunda webale nnyo.

2    Ayi mukama kabaka mu ggulu kitaffe ow’ettendo
Katonda patri omuyinza owa buli kantu.
12.    Ayi mukama omwana oyo eyazaalibwa omu bw’ati
Yezu kristu omwana wa katonda yezu omuwanguzi.

3.    Ayi mukama yezu akaliga, aka katonda mwana,
Oyo omulokozi Yezu omwagazi essanyu mwe tuliggya.

4    Ggwe aggyawo ebibi by’ensi saasira, tusaasire mukama
Ggwe aggyawo by’ensi wuliriza okwegayirira kwaffe.
15.    Ggwe attudde ku gwa ddyo saasira tusaasire mukama
Ggwe attudde ku gwa ddyo ogwa patri kye tukusaba tusaasire.

5.    Kubanga ggwe mutuukirivu ggwe mukama wekka,
Assukkiridde ggwe yezu kristu.*2

6.    Wamu ne mwoyo mutuukirivu mu kitiibwa ekya kitaffe,
Mu ggulu emirembe ku nsi. A……mii…..na.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *