EMIREMBE N’ESSANYU

Bass; Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda
Chorus;
Emirembe n’essanyu essa bikke mu nsi yonna yonna,
Mu b’omwoyo omulungi, Katonda gw’ayagadde atyo, Emirembe wonna

1.    Olw’ekitiibwa kyo Mukama Mukama wonna tukusinza,
Tukugulumiza tukutenda weebale byonna by’okoze.

2.    Mu ggulu Katonda ggwe Kabaka waffe wonna tukusinza,
Taata Katonda tukutenda n’essanyu olw’obuyinza bwo.

3.    Mukama waffe Omwana wa Katonda ggwe Yezu Kristu,
O Kaliga aka Katonda Mwana Katonda gw’alina.

4.    Ggwe aggyawo ebibi by’ensi saasira ffe tusaasire.
Ggwe aggyawo ebibi by’ensi wuliriza okwegayirira kwaffe.
5.    Ggwe atudde ku ggwa ddyo gwa Patri tusaasire (2)

6.    Olw’okuba ggwe wekka omutukirivu ggwe Kabaka wekka
Olw’ekitiibwa kyo Yezu Kristo osukulumye wonna wonna.

7.    Nga muli wamu n’omutiibwa oyo, Mwoyo Mutuukirivu,
Mu kitiibwa kya Katonda Patri Amiina Emirembe.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *