EMIREMBE N’ESSANYU

EMIREMBE N’ESSANYU


Ekitibwa kibe mu ggulu eri Katonda
Emirembe n’essanyu essa bike mu nsi
yonna yonna
Mu b’omwoyo omulungi, katonda
b’ayagadde atyo Emirembe wonna


1. Olw’ekitiibwa kyo Mukama Mukama wonna
Tukusinza Tukugukumiza tukutenda weebale
byonna by’okoze


2. Mu ggulu Katonda ggwe Kabaka waffe wonna
Tukusinza Taata Katonda tukutenda n’essanyu
olw’obuyinza bwo


3. Mukama waffe Omwana wa Katonda ggwe Yezu
Kristu Oh Kaliga aka Katonda Mwana Katonda
gw’alina


4. Ggwe aggyawo ebibi by’ensi saasira ffe tusaasire
Ggwe aggyawo ebibi by’ensi wuliriza okwegayirira
kwaffe


5. Ggwe atudde ku gwa ddyo gwa Patri tusaasire
(x2)


6. Olw’okuba ggwe wekka Mutuukirivu ggwe
Mukama wekka Olw’ekitiibwa kyo Yezu Kristu
osukkulumye wonna wonna.


7. Nga muli kimu n’Omutiibwa oyo Mwoyo
Mutuukirivu Mu kitiibwa kya Katonda Patri,
AMINA EMIREMBE.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *