Mwoyo wa Katonda jjangu naffe otubeeremu, Ebitone byo bitujuzenga. Otubukale tube banywevu mukulangirira Kristu wangamye. Ffe ng’otuyamba Mwoyo otugumya ffe nga ojja n’otujjula otulungamye, tubunye ekigambo kyo Katonda.
- Ayi Mwoyo Mutuukirivu, Ye ggwe nsulo y’obuwanguzi. Lungamya ensi eno; tulambikenga mu kkubo ettufu tusse kimu twagalane.
- Ayi Mwoyo Mutuukirivu, ye ffe abaana bo ggwe b’olina. Tujjuze enneema; tuginyikize eddiini entuufu abakaafiiri ebabune.
- Ayi Mwoyou Mutuukirivu, ffe tuwe ammanyi n’obuvumu, amasabo, ebya wongo tubyokye. Tugobe sitaani mu maka, Kristu tumulangirirenga.