EBENDERA YA KABAKA (Fr. James Kabuye)

Ekidd.: Ebendera ya Kabaka evuddeyo
Omusaalaba guuguno gutemagana.
Nnyinibulamu gwe yafiirako,
N’atuwa obulamu ng’atufiirira.

1. Yasoggwa luli effumu n’obukambwe,
N’avaamu omusaayi n’amazzi,
Yakubwakubwa emiggo n’obuswandi,
Atunaazeeko ekko ly’ebibi.

2. Byonna byalangwa Daudi ku ebyo ebijja,
Ng’agamba amawanga ag’essimba.
Aliramula Kabaka alifuga ensi,
Nnamulondo kw’ali muti kw’afiira.

3. Mwenna Abasatu ensulo y’obuyambi,
Trinita Katonda Omu bw’ati,
Byonna bikuwe ettendo ery’obutonzi,
Wa tuwangule tutuuke gy’obeera.

DOWNLOAD LINK:
EBBENDERA YAKABAKAKATONDA WANGE LWAKI OKUNJABULIRA

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password