KU LWAFFE KATONDA WAFFE

1.    Ku lwaffe katonda waffe, yayiwa omusaayi gwe
Okusaanya ebibi byaffe, byonna bitusonyiyibwe.
Ffe abakristu tulire nnyo, nga twekkaanya Omukama
Nga tulowooza mu mwoyo, ennaku  ze yalaba.

2.    Ng’atuuse e Getesemani, n’agamba ng’azirika
“kitange mpweddemu amaanyi, omponye omusaalaba”
Naye olw’okutwagala ennyo, n’amugamba nti: “ssebo, kola ggwe ky’onjagaliza, tokola kye njagala.”

3.    Omutume omulyakuzi n’atuka ku mukama
N’alamusa omulokozi, n’amugwa mu kifuba.
Awo Yezu n’amubuuza nti: “ekikuleese wano? Gwe nayita ow’omukwwano, ompayo ng’onnywegera.”

4.    Baamukwata baamutuusa mu nnyumba eya Kayafa
Bonna wamu ne bagamba nti, ”Asaanidde okufa”
Ne bakeesa obudde bwonna nga baduulira Yezu
Bamufujira amalusu, nga bamusekerera.

5.    Petro n’akwatibwa ensonyi,  ng’abuuziddwa omuzaana;
N’alayira; “Simumanyi” bwa’atyo nno n’amwegaana.
Sso yasaasirwa Omukama, ng’amusimbyeko eriiso,
Petro nno n’abanerera, n’avaayo n’alira nnyo.

6.    Yezu baamuwayiriza, afe ku musaalaba
Pilato n’asaliriza, n’abateera Balaba.
Mukama ffe twandisaanye, okuliwa omusango,
Ate ggwe otufiiriridde, n’otuwa ekisonyiwo.

7.    Ne bamuzingira amaggwa, y’engule ya kabaka.
Baagimusimba mu kyenyi, n’atiiriika omusaayi.
Ffe ababi nga titufaayo, kulowooza mu mwoyo
Omukama bweyalumwa, ng’atwagalira ddala.

8.    Omulokozi wa bonna, yeetikka omusaalaba,
N’atuuka ku kalvariyo, n’agugalamirako
Baamukomerera anninga, ebigere n’engalo,
Baamufumita omutima, mwe mutuviira enneema.

9.    Omutonzi n’alabika, mu kaseera akokufa
Ensi yonna n’ekankana, enjazi ne zaatika.
Omulokozi bwe yafa, byonna byonna byakaaba.
Naffe nno tubonerere, olwaleero twenenye.
omponye omuliro.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *