MU NNAKU ZA KAREMA

1.    Mu nnaku za karema, katonda atuyita;
Nti mujje, musonyiyibwe, ebibi byammwe biggwe.
Leero tubonerere tuwone omuliro
Katonda atusaasire, atuwe ekisonyiwo.
Mujje mmwenna mwenenye, ebibi byammwe biggwe.
2.    Bangi bafa bulijjo, nga bali mu ntubiro,
Nebatasonyiyibwa nga bukomye obw’ekisa!

3.    Ogamba, ggwe omukaba; nti ndibonerera edda!
Walumbe atalaga, ajja kibwatukira.

4.    Nawe omulyazamayi, ne bw’okungaanya ebingi
Mu budde obw’okufa, mpa kantu k’osigaza.
5.    Wulira ggwe agayadde! Ogamba nti mpummudde! Walumbe atalaga, ajja kibwatukira.

6.    Ggwe agenda ku sitaani, leero nno oligamba ki?
Katonda ng’akugobye, nti vvaawo! Toli wange.

7.    Omukyufu ggwe okira, okunyiiza Omukama,
Wamulyamu olukwe, nga Yuda omuboole.

8.    Mu nnaku za karema, katonda akyasaasiira
Tagaana kusonyiwa, bonna ababonerera.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *