NSAASIRA MUKAMANNEENENYEZZA (Zab: 50) (Fr. Expedito Magembe)

Ekidd.: Nsaasira Mukama nneenenyezza, Nneenenyezza Mukama onsaasire
Nsaasira Mukama nneenenyezza, Nnasobya Mukama onsaasire.

1. Ekisa ekikyo Mukama nga tekikoma
N’obusaasizi obubwo bwa mirembe, Mukama nsaasira.

2. Ggwe Omusaasizi Mukama nsaasira
Nnaazaako ebibi biggweewo Mukama ntukuza.

3. Nze nzikiriza ddala Mukama nnayonoona
Nze njatulira ddala nga ndi mubi Mukama nsaasira.

4. Nze kye nkusaba Mukama onzize buto
Nziriza omwoyo omutukuvu Mukama ntukuza.

5. Nze kye nkusaba Mukama tongobanga
Nteeka mu maaso go bulijjo Mukama ennaku zonna.

6. Nze nneenenyezza Mukama nsaasira
Nnasobya mu maaso go Mukama nsaasira.

DOWNLOAD LINK:
NSAASIRA MUKAMA NNENENYEZZA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *