TUGULUMIZE OMUSAALABA (W.F.)

1.Tugulumize Omusaalaba. Gwafuuka ntebe ya kitiibwa, Kabaka kwayima okufuga,
Kw’ayima n’okuyigiriza.

Ekidd.: Tutendereze ffe ffenna
Yezu gwe baakomerera
Tutendereze ffe ffenna
Yezu gwe baakomerera.
2. Tugulumize Omusaalaba,
Si muti buti gwe tusinza,
Yezu ye yekka gwe tulaba,
Ku muti kwe yatufiirira.

3. Tugulumize Omusaalaba,
Leero gutuli ng’ebendera;
Mu ntalo, gwo gwe gututwala,
Guwonya bonna abagweyuna.

4. Tugulumize Omusaalaba,
Gwamenya enngoma ya sitaani,
Kaakano buli lw’agulaba,
Yeekanga n’aggwaamu amaanyi.

DOWNLOAD LINK:
TUGULUMIZE OMUSAALABA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *