YEZU NDABA
1. Yezu ndaba, nga nkomyewo gyoli.
Nkakasiza, okwewala ekibi.
Ayi, nsasira Yezu, nze akwesengereza;
Sikyaddamu kujeema,
Ayi, nsasira Yezu, nze akwesengereza;
Sikyaddamu kujeema bbanga lyonna.
2. Ngoberere, Maria omwenenyi.
Nneevuunise, nga nkowola gyoli.
3. Gira ekisa, ku lw’omusaayi gwo,
Njazirana, omponye omuliro.
0 Comments