AMATENDO GA BIKIRA MARIA (W.F.)

1.Tukunnganidde gy’oli Nnyaffe
Tukutende mu nnyimba zaffe.

Ekidd. Ave, Ave. Ave Maria
Ave, Ave, Ave Maria.

2.Ggwe oli Muzadde, ayi Bikira,
Eyatuzaalira Omukama.

3.Nnyina Katonda, Nnyina enneema,
Eyakutonda yakutuwa.

4.Tolina bbala mu mwoyo gwo,
Kuba wazaala Mukama wo.

5.Ye Ggwe asaanidde okwagalwa,
Ye Ggwe asaanidde okutendwa.

6.Endabirwamu y’obulungi
Omwerabirwa empisa ennungi.

7.Abali naawe bakuyita
Kabaka waabwe, ayi Maria.

8.Ggwe ow’obuyinza, Ggwe ow’ekisa
Ffe abateyinza totuleka.

9.Mubeezi waffe, Ggwe Kabaka
Wa Bajjajjaffe abaakulanga.

10.Ku ffe abalwala Ggwe bulamu,
Olitutwala ne mu ggulu.

11.Tusabirenga ffe abaana bo,
Tuyagalenga Omwana wo.

DOWNLOAD LINK:

AMATENDO GA BIKIRA MARIA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *