Omwoyo gwange gugulumiza Omukama
N’e mmeme yange n’e mmeme yange n’e mmeme yange ejaguliza … ejaguliza mu katonda mulokozi mulokozi wange.
Kubanga yatunulira obutenebwomuzaana we nze,
okuvaleero amazadde gonna ga nampitanga wa mukisa
Kubanga nnyini buyinza yankolera ebinene n’erinnya lye ttukuvu nnyo
Ekisa kye ku bamutya bonnakibuna amazadde gonna
Omukono gwe yagukoza ebyamaanyi abaali beekuza mu birowoozo byabwe yabasasaanya. Abobuyinza yabaggya ku ntebe n’agulumiza abatene.
Abayala yabajjuza ebirungi abagagga n’abaleka buggo bonna
Yalyowa Yisraeli omuwereza we ng’a jjukira ekisa kye kiri
Nga bwe yagamba okukigirira bajjajjaffe Yibrahimu n’ezzadelye emirembe gyona.
Ekitiibwa kibe kya Patri ne kya Mwana n’e kya mwoyo Mutukirivu
nga bwekyaliwo olubereberye nakakano, n’ebulijjo emirembe n’emirembe
Amiina.