MIREMBE GGWE NNAMASOLE
Ayi Maria tuwaanjaga; tuyambe tutuuke
muggulu.
Mirembe ggwe Nnamasole, Muzadde
w’Omulokozi. Mugole wafe omusaale
w’abatabaazi ab’o kunsi.-
Ndabirwamu etemagana, Ayi Bikira omusaasizi.
Ekitebe ky’amagezi, nsibukoy’e saanyu lyaffe. -
Ggwe nnyumba eyaza wabu, Ayi Bikira
omutiibwa. Ayi Bikira omwesigwa, akubagiza
abanaku. -
Omubeezi w’abakristu, Ayi Bikira omuyinza.
Kabaka w’abanyiikivu, tujuneffe abateyinza. -
Kiddukiro ky’abanaku, Ggwe atuwa enneema
zonna. Abaana bo tuzze gy’oli, tusabire
tukwesiga