MIREMBE MARIA
Mirembe Maria nnyaffe
ajjuddee nneema
Ggwe nnamukisa mubakazi
ensigy’e koma muzadde wa Kigambo
yezu Omulokozi mirembe Maria
Mirembe.-
Tutenda Maria Nnyaffe
Asinga Eva Ye nnamukisa
Nnamasole eyasiimibwa
Muzadde w’Omutonzi ataggwa
Kutendebwa. Mirembe Maria
Mirembe. -
Wankaaki w’eggulu Maria
Ayinza ebinene. Ffe abaana bo
Tusabire tukwesiga. Muzadde wa
Katonda nnyaffe atasangika.
Mirembe Maria, mirembe. -
Kabaka w’emirembe ffe
tuzze gy’oli. Ggwe
eyakwasibwa ensi eno
n’abaminsani. Enjala n’entalo
ggwe nnyaffe bituwonye.
Mirembe Maria, mirembe. -
Luliba lukulu naffe lwe
Tuliwangula. Ffe abalamazi
Mukama n’atusaasira. Abaana
Bo abaganzi nnyaffe
Tuwanguze .. Mirembe Maria
Mirembe.