NNYAFFE OW’AFRICA

1.    Ye ggwe Maria, omuzadde amakula
Asinga ggwe abazadde bonna;
Kuba messiya, mu nda yo mwe yava,
Wazaala Yezu otendwa Maria.
Abafrica ffena tukwewa, tuyambenga Ggwe Nnyaffe ow’Africa.

2.    Ye ggwe Maria eyayamba abatume,
Luli Yezu ng’avudde ku nsi;
Ye ggwe eyasaba, mwoyo ajje agumye,
Bonna Kristu oyo, be yajja okuyita.

3.    Luli abakuli lwe bajja gye tuli,
Wala nnyo eno munsi Africa;
Ne bagikuwa, ensi eno na byonna,
Ffena ggwe nnyaffe, tuyambe Maria.

4.    Ensi etabuse tuyambe tuwonye,
Ffena abaana jangu otubule;
Laba omulabe ajja atusaanyeewo,
Tuyambe nnyaffe tutaase abalabe.

5.    Leero Maria Uganda ekuyita,
Juna nyweza eddiini wonna;
Bonna abakulu ggwe beesiga ye ggwe,
Bakuume nnyaffe, bataase Maria.

6.    Laba abanaku bayambe Maria,
Ggyawo endwadde wonna mu Africa;
Juna abanaku, bawe ak’okulya,
Babeere kumpi, bayambe Maria.

7.    Laba Maria, abaana abanaku,
Jangu ggwe nnyaabwe bawambatire,
Bawe okuyiga nti: Yezu ye yekka,
Afula abaana, abalungi amayisa.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *