SAASAANA BUNA ENSI

Saasaana buna ensi; Nnyaffe ow’ekisa
Ekitiibwa kyo kisusse wonna; Nnabakyala
Tukutenda omuzade w’omukama ggwe Nnamukisa
1.    Nnamukisa Maria ow’ekisa……Ye ggwe
Nnamukisa Maria tokirwa……
Nnamuksa Maria eyakkiriza……….
N’ozaala omwana eyandokola……..

2.    Nnantalemwa omuyinza ow’ekitalo…Oyo
Yakukolamu ebirungi eby’amagero…….
Weewayo Maria wakkiriza…………..
N’ozaala omwana eyandokola………….

3.    N’oweebwa ekitiibwa eky’ekitalo.Ye ggwe
N’owebwa obuyinza n’emikisa……
Mu mazima ffenna otusukkulumye……
Mu mikisa ggwe nnyaffe ggwe osinga…

4.    Njogera ku nnyabo omutuukirivu…Oyo
Gwe ntenda ye Eva owokubiri………
Nnakazadde omukyala eyakkiriza…….
N’ozaala omwana Yezu…………….

5.    Nnamukisa Maria otweyagaza…Ye ggwe
Tukweyunye ggwe nnyaffe ow’omukisa………
Tukwesiga buvune onooyamba…………
Tukweyunye era tukwekutte………

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password