ABAAVU MU MWOYO (Sr. Peter)

1.Abaavu mu mwoyo beesiimye, obwakabaka obw’omu ggulu balibulya

Ekidd.: I
Ba mukisa ………… Beesuneko baliwanngama.

Ekidd: II
Yee, ba mukisa nnyo Omukama alibateeka ku mukono gwe ogwa ddyo.

2.Abantu abateefu beesiimye balirya ensi – Ba mukisa
Beesuneko balisukkuluma.

3. Abo abasinda beesiimye, balikubagizibwa – Ba mukisa
Beesuneko balisanyulwa.

4. Abalumwa enjala n’ennyota, ey’obutuukirivu, – Ba mukisa
Beesiimye balikkusibwa
Beesuneko balimatira.

5. Abalina ekisa, beesiimye, baligirirwa ekisa – Ba mukisa
Beesuneko balyerolera.

6. Abomutima omulongoofu, beesiimye baliraba Katonda – Ba mukisa
Beesuneko balyerolera.

7. Abaleeta emirembe beesiimye, baana ba Katonda – Ba mukisa
Beesuneko balyegiriisa.

8. Abayigganyizibwa, olw’obutuukirivu, beesiimye
Obwakabaka bw’omu ggulu balibulya – Ba mukisa
Baliwanngama abo balitikkirwa.

DOWNLOAD LINK:

ABAAVU MU MWOYO

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *