ATENDEREZEBWE OMUKAMA

Atenderezebwe omukama,
Atenderezebwe omukama Katonda w’amagye
Atenderezebwa omukama,
Agulumizibwe omutonzi w’eggulu n’ensi

1.    Mu kiggwa kye ekitukuvu…..tumutende
Mu ddoboozi ery’entongooli ……
Mu ngoma ezo ne mu nnyimba……
Mu ngoye envuzi n’amadinda…….

2.    Kumakya bwe tugolokoka……
Mu mirimo egya buli ngeri……
Mu nngendo ezo eza buli ngeri………
Ekiro bwe twebaka otulo………

3.    Mu kitambiro ekitukuvu…………….
Mu ssaala eza buli ngeri……………
Mu ssanyu nga tusagambiza……….
Mu nnaku bwe tunakuwala…………

4.    Bassabamalayika eyo mu ggulu………
Bamalayika eyo mu ggulu……………
Abatukirivu aba buli ngeri………..
Bannamukisa abajulizi…………

5.    Ebinyonyi ebyo mu bbanga……….
Ebyewalula n’ebiwuka………..
Ebisolo eby’eyo mu nsiko………
Ebyennyanja n’ennyanja……….

6.    Ebinene abyaka waggulu………
Amasozi n’emitendera……….
Ebimuli ebya buli ngeri……….
Ebitonde byonna eby’ensi…………

7.    Ffe nga tukyali ku nsi kuno………..
Ne bwe tuligenda mu ggulu……….
Twesiime naye olubeerera …………
Emirembe gyonna mu ggulu…………

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password