BAGANZI BO

1.    Baganzi bo Yezu tuzze gy’oli
Tukuwooyewooye nga tukusinza,
Anti tokyatuyita na baddu,
Watufuula baganda bo.

2.    Ggwe osobola wekka ayi Yezu
Okuliwa omutango gw’ebibi
N’okutufunira ekisonyiwo
Ffenna tugende mu ggulu.
3.    Mu missa ezisomwa mu nsi yonna
Otuyita nti mujje gyendi mwenna
Abalumwa n’abakalubiriddwa
Nange mbatowolokose.

4.    Ku kalivariyo ku musalaba
Mu bulumi watusabiranga nnyo
Walaga Yezu nga bw’otwagala
Bwe watufiirira ffenna.

5.    Ggwe ow’obuyinza ggwe ow’ekisa
Akunoonya bulijjo akulaba
Akusaba bulijjo afuna
Tumulise emitima.

6.    Wano mu missa ne mu komunio,
Twegatta wamu okuddaabiriza
Katonda patri eyakutuwa
Okutufiirira ffenna.

7.    Ba Kerubimu ba Serafimu,
Nammwe abatuukirivu bo mu ggulu
Musanyukire omugenyi wange
Anti y’oyo nnyini ggulu.

8.    Mmange Maria twenkanye leero,
Ggwe wazaala anti nange gwe ndidde,
Ndi wamukisa okukufaanana
Anti nange ndi mwana wo.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *