ENGALO Z’ABANAKU (Fr. Expedito Magembe)

Ekidd.: Engalo z’abanaku ge mawanika ag’obwakabaka obw’omu ggulu,
Akamwa k’abaana abakusaba ge mawanika ag’omu ggulu.

1.Buli ky’owa omwavu oba okiterese mu mawanika
Buli ky’owa abanaku ng’owadde Ye y’omu alikuweera empeera.

2.Buli ky’owa abanaku oba okiterese mu mawanika
Kristu muyambe mu babonaabona, bw’obawa ng’owadde Ye alikuweera.

3.Buli ky’owa abato oba okiterese mu mawanika
Bonna abo abalumwa bw’obayamba oba oyambye Ye alikuweera.

4.Omukama omulungi ng’asanyuka: bw’omuyamba lulikya nkugambye
N’atukoowoola ffenna abamuyambako n’atutwala, ne twesiima mu bwakabaka bwe.

DOWNLOAD LINK:
ENGALO Z’ABANAKU

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *