EWUWO GYE NSITULIRA OMWOYO GWANGE

Ekidd.: a.Mu Bwamatuuka: Omukama Katonda alidda okutulamula,
Mujje tumusinze ffenna!

b.Mu Bwamazaalibwa:Omwana Kristu azaaliddwa,
Mujje tumusinze Lugaba!

c.Mu Bwameeyoleka:Omukama atweyolese mu Kristu
Omwana we,
Mujje tumusinze ffenna.

d.Mu Bwekisiibo: Omukama atusaasira mu Kristu Omulokozi,
Mujje tumusinze ffenna.

e.Mu Bwamazuukira:Alleluia, Alleluia,
Kristu Azuukidde.

f.Obwomwaka: Omukama Katonda Ddunda eyatutonda,
Mujje tumusinze ffenna.

1. Ewuwo gye nsitulira omwoyo gwange
Ayi Mukama Katonda wange.

2. Nneesiga Ggwe, singa nno siswadde,
Abalabe bange nneme kubafuukira nsonga ya kujaganya.

3. Anti bonna abo abasuubira mu Ggwe wekka
Tibaliswala emirembe gyonna.

4. Nnambika mu makubo go era onjigirize
Kubanga Ggwe Katonda Omulokozi wange,

5. Jjukira okusaasira kwo, Ayi Mukama,
N’ekisa kyo eky’emirembe gyonna.

6. Omukama mulungi era mutereevu
Ky’ava ayigiriza aboonoonyi amakubo ge ago: Ekitiibwa ….

DOWNLOAD LINK:
EWUWO GYE NSITULIRA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *