GWE NGOBERERA MMUMANYI(Fr. James Kabuye)

Ekidd.:Gwe ngoberera mmumanyi, gwe nzikiriza mmumanyi
Katonda Lugaba mmumanyi gyali
Gyali Katonda wange mmukkiriza gyali
Gyali Katonda wange mmukkiriza nzenna.
Talireka na muweereza we kuvunda, emirembe x2

1.Y’ani oyo atamanyi Katonda, y’ani oyo asaasirwe!
Anti mu Katonda mw’obeera mw’okulira,
Mu Katonda mw’otambulira,
Buli lukya, buli lukya Nnamugereka y’abukeesa.

2.Y’ani oyo atamanyi Mutonzi, eyajja atambirwe,
Anti mu Katonda mw’abeera mw’akolera.
Mu Kitaawe Ye mw’asibuka.
Ye Mwana, ye Kristu nsinza gwe mmanyi, ye Katonda.

3. Nze nsinza Katonda omwagalwa ennyo, Mwoyo oyo, atendebwe,
Anti ye Katonda oyo ajja atugumye, ng’atuyamba, ffe bulijjo.
Mu kuyiga, mu kukola, Mwoyo gw’olina y’akubeera.

4.Ye Ddunda atuusa n’endagaano, atuusa buli kimu,
Anti ye Katonda, ye Lugaba, mwe tufunira, buli kantu.
Buli ssanyu, buli nnaku, Nnamugereka y’atunyweza.

5.Mujje mmwe abaana ba Katonda, mujje mmwe tumweyune,
Anti ye Katonda bwe bulamu, ye mugabe mw’owonera.
Buli lukya, atuyita, Nnamugereka y’atutaasa.

6.Ggwe Ddunda olwaleero nkusiima, Ggwe Mwana, Mwoyo wamu,
Anti ye Katonda oyo ajja, bwe bulamu, mu mutima gwo mubeera wamu.
Buli lukya buli lukya, Nnamugereka y’akutwala.

DOWNLOAD LINK:
GWE GOBERERA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *