Ekidd.: Katonda nga yayinga okwagala ensi
Okwagala kwe tukubunye nga twagalana
Katonda nga yayinga okwagala ensi
Okwagala kwe tukubunye wonna.
1. Adamu n’Eva nga basobezza
Teyabaleka ttayo yatuma Omununuzi-Katonda nga yayinga okwagala ensi
Omwana omu ati gwe yalina
N’amuwaayo ku lwaffe atulokole – Katonda nga yayinga okwagala ensi.
2.Yezu Kristu atwagala,
Bwe tusobya atulinze atusonyiwe – Katonda nga yayinga okwagala ensi.
Atutegekera bulijjo embaga ye,
Tufune Omubiri n’Omusaayi gwe – Katonda nga yayinga okwagala ensi.
3. Nnyaffe Maria Omuddaabiriza,
Tusabire tuddaabirize Omwana wo – Katonda nga yayinga okwagala ensi
Nga tuli mu bulamu buno obw’oku nsi,
Tutuukirize okuyitibwa kwaffe – Katonda nga yayinga okwagala ensi.
4. Okufuna obulamu obw’olubeerera
Twagale Katonda ne bannaffe – Katonda nga yayinga okwagala ensi.
Ekigambo kye tukibunye n’okwagalana,
Olwo alituwa empeera mu ggulu – Katonda nga yayinga okwagala ensi.
DOWNLOAD LINK:
KATONDA NGA YAYINGA