KATONDA WANGE LWAKI OKUNJABULIRA?

Katonda wange, katonda wange,
Lwaki okunjabulira? Nsuudira mu ggwe, katonda wange,nziruukirira!
1.    Nkwagala ayi mukama, amaanyi gange , olwazi lwange, ekigo kyange, omulokozi wange,katonda wange,
Ejjinja lyange, mwe neekweka
Engabo yange omufunngamye obulokofu bwange, obuddukiro bwange.

2.    Kubanga yannywererako ndimuwonya
Ndimutaasa kubanga yategeera erinnya lyange;
Alinkowoola nange ne mmuwuliringa
Ndimuwonya ne mmusukkulumya.

3.    Ndimuwangaaza nnyo n’asiima;
Aliraba nga bwendi omulokozi
Anti omukama kye kiddikiro kyo;
Ali waggulu ddala gwe wafuula ekigo kyo.
4.    Akabi tikalikusemberera
N’akabenje tikalisemberera weema yo ggwe;
Kuba y’alagira bamalayika be bakukuume;
Wonna, wonna w’oyita!

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *