KATONDA YEEBALE (Fr. Gerald Mukwaya)

Ekidd.: Katonda yeebale, yeebale nnyo
Katonda yeebale, yeebale
Nja kumwebazanga emirembe gyonna,
Nja kumwebazanga buteddiza.

1. Obulamu bwe nnina ku nsi kuno buli ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe abumpa nnaakwebaza ntya?
Essanyu lye nnina ku nsi kuno liri ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe alimpa ndikwebaza ntya?

2. Emyaka gye mmaze ku nsi kuno giri ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe ankuumye ndikwebaza ntya?
Obugagga bwe nnina ku nsi kuno buli ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe abumpa ndikwebaza ntya?

3. Amaka ago ge ndimu ku nsi kuno gali ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe agampa ndikwebaza ntya?
Abaana be nnina ku nsi kuno bali ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe abampa ndikwebaza ntya?

4. Abazadde be nnina ku nsi kuno bali ku bw’ani,
Ayi Mukama nze omwana ndikwebaza ntya?
Emikwano gye nnina ku nsi kuno giri ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe agimpa ndikwebaza ntya?

5. Ebyo bye nkoze ku nsi kuno biri ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe ankuumye ndikwebaza ntya?
Entalo ze ngobye ku nsi kuno ziri ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe annyambye ndikwebaza ntya?

6. Eddiini gye nsoma ayi Mukama esomwa ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe Ddunda ndikwebaza ntya?
Eggulu gye ndaga nga nfudde liri ku bw’ani,
Ayi Mukama Ggwe Ddunda ndikwebaza ntya?

DOWNLOAD LINK:
Katonda Yeebale

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *