KITAFFE BY’OKOLA BYONNA(Fr. James Kabuye)

Ekidd: Kitaffe by’okola byonna, birungi by’okoze mu ffe,
Birungi by’okola byonna ku nsi,
Osaanira kutendwa ffe abantu b’oganza bw’otyo,
Osaanira kutendwa Ggwe Nnamugereka.
Ka tumwebaze ku lwa leero.

1. Mujje muwulire abayita bye mbatendera,
Mujje muwulire ebinene bye njogerako,
Yafuula abakopi baana b’alabirira,
N’awa ffe okulaba bw’ali ow’ekisa.

2. Mujje tuyimbire Omukama Nnyini-bulamu,
Mujje tubalage Omukama by’atukolera,
Yafuula abakopi eggwanga linnamukisa,
Yassa obulamu, mu ffe obujjuvu.

3. Mujje muyimbire Omukama olw’obulungi bwe,
Kubanga yatuwa ebingi eby’okumuukumu,
Afudde olunaku olwaffe lunnamukisa,
Naffe tweyagale, sso ka twejage.

4. Mujje mukakase abange by’atukolera,
Mujje ffe tuwere okukola ebimusanyusa,
Mulungi mutuufu Omukama anatuyambako,
Anti y’atutuma, ffe bajulizi.

DOWNLOAD LINK:
KITAFFE BY’OKOLA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *