KUUMA EBISUUBIZO

Kuuma ebisuubizo bye wasuubiza ng’obatizibwa
Kristu n’omusenga, wamalirira toddirira.

1.    Nnyaffe Eklezia akusaba, nnywera okule mu kukkiriza
Katonda ani oyo gw’onoonya?
Gwebatakuwa ku luli ng’obatizibwa.

2.    Kristu yatugamba twerinda abalanzi ab’obulimba bali ababuzabuza
Bakuwa eddiini ennyangu, weerinde mwattu ozaawa
Bakuwa Kristu omwangu, weerinda mwattu ozaawa.
Bakuwa obugagga obwangu, weerinde mwatu ozaawa.

3.    Eddiini si byewuunyo, ne sitaani naye abikola nnyo
Eddiini si kwesanyusa, ne sitaani naye asanyusa nnyo

4.    Empeera y’abalungi ekusuba, obanga tofubye tonywedde
Empeera y’abalwana ekusuba, obanga togumye tonywedde
Empeera y’abalungi ekusuba, okusamira kuleke ozaawa
Empeera y’abalwana ekusuba eddiini ziizo zibuna.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password