MUJJE ABAAGALWA MUJJE (Fr. Expedito Magembe)

Ekidd.: Mujje abaagalwa, – Mujje be mmanyi,
Mujje ewa Kitange – Mu bwakabaka bwe. x2
Mujje ab’omukwano – Mujje mmwe
Kubanga mwanjuna nze – Ku nsi kuno:
Obulamu n’ekitiibwa – Byonna ebyo
Kitange anaabaweera – Mujje mmwe.

1.Nga ndi muyala mwampa ekyokulya, mwampa ekyokunywa bannange mwannyamba.
Nga ndi mugenyi mwansuza, mwankumaakuma bannange mwannyamba.

2.Nga ndi bukunya mwandabirira, mwampa ke mulina bannange mwannyamba.
Nga ndi musibe mwandabirira, mwankumaakuma bannange mwannyamba.

3.Nga ndi ku ndiri mwanzijanjaba, mwambudaabuda bannange mwannyamba.
Nga ntaawa mwankumaakuma, mwambudaabuda bannange mwannyamba.

4. TULYEWUUNYA NE TWEBUUZA NTI
Twakulaba ddi ne tukuyamba?

OMUKAMA ALIDDAMU:
Buli ky’okolera omu ku baliwo
Buli ky’okolera banno b’olina
Buli ky’okolera abo oba okikoledde nze.

Mujje abomukwano Mujje mmwe
Kubanga mwanjuna nze Ku nsi kuno
Obulamu n’ekitiibwa Byonna ebyo
Kitange anaabaweera Mujje mmwe.

Mujje abaagalwa mujje be mmanyi,
Mujje ewa Kitange mu bwakabaka bwe.

DOWNLOAD LINK:
MUJJE ABAGALWA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *