MULI KITANGAALA

1.    Muli kitangaala enky’ensi
Muli ttawaaza ey’amazima
Mwakirenga ensi yonna
Emanye katonda n’obukulu bwe.
Mu kubatizibwa twafuka baana be
Katonda n’atusindika tube batume be
Ne mwoyo n’atuwa ffe tube ettaala
Tube kizimbulukusa mu ggwanga lye x2
2.    Muli basiige mwalondwa
Mufuuse baana ab’enda emu
Mulagenga nga mwagalana
Amayisa gamwe gabe malamu.

3.    Muli bitundu eby’omubiri
Mwayungwa ku nze mwalokoka
Mufubenga okwekuuma
Obulamu bwange bubabeeremu

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *