MWENENYE MMWE by Ssemanda Lawrence

Mwe abantu ba Katonda ab’okunsi muli ku ki mmwe aboonoona, abanyiza Omutonzi Katonda? Twayonoona, twasobya Omukama Ye n’atufiirira; mwenenye mmwe abantu b’ensi mwenenye, Mukama omulungi anabasonyiwa. Abasonyiwe, (mwenna) abasonyiwe, mwenna abasaasire, abasonyiwe mmwe.

(Ffe abantu b’ensi) twasobya nnyo, twenenye ffe, twasobya nnyo, twenenye ffenna. Amawanga (gonna) mweddemu, mweddemu, mweddemu. (Oyo) agulumizibwenga. Nyini byonna ye Mukama omusaasizi. Namugereka Omuyinza (oyo) Nnantalemwa (Katonda) Mukama asaasira, asonyiwa atenderezebwe, atenderezebwenga. Twenenye ffe abantu b’ensi, lwetunamuwa ettendo n’ekitiibwa ebimugwanira, twenenye, (Tweddemu ffe twenenye).

  1. Nnawokeera ono abunye ensi Yezu mutuwonye ffe atumalawo.
    Ensi agisaanyawo Mukama yamba. Twenenyezza twasobya (twasobya) twenenyezza, twenenyezza, twenenyezza.
  2. (Mmwe mumuwulirenga gwe nnesiimiramu, (Mukama) Yesu asonyiwa Kristu Omwana wa Katonda n’abonnabona, n’akomererwa ol’okuba ffe, twenenye (tweddemu ffe twenenye).
Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?

Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [148.25 KB]

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *