NFUULA OMUKUTU OGW’EDDEMBE (Fr. James Kabuye)

Ekidd.: Nfuula omukutu ogw’eddembe x3
Mukutu… ogw’eddembe mukutu
Ogw’eddembe, ayi Mukama, buli wantu,
Ntuuseeyo okwagala kwo.

1. Nnyamba nneme kunoonya kikubagizo
Naye nnoonye okukubagiza abalala.
Awali obukyayi, nziseewo okwagala kwo
Awali okunyiiza, ntuseewo obusaasizi,
Nnyamba nnoonye okutegeera okwagala naye ssi kwagalibwa.

2.Nnyamba nneme kunoonya kikubagizo,
Naye nnoonye okukubagiza abalala.
Enzikiza w’ezze, nziseewo ekitangaala,
Awali obusungu ntuuseewo obusaasizi
Nnyamba nnoonye okutegeera okwagala naye ssi kwagalibwa.

3.Nnyamba nneme kunoonya kikubagizo,
Naye nnoonye okukubagiza abalala.
Awali okuyomba, nziseewo nze eddembe lyo,
Awali agayadde ntuuseewo okunyiikira,
Nnyamba nnoonye okutegeera okwagala, naye ssi kwagalibwa.

DOWNLOAD LINK:
NFUULA UMUKUTU OGWE DDEMBE

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *