NJA KUYIMBANGA EKISA KYO MUKAMA BY Pontiano K.Biva
Chorus:
Nja kuyimba nga ekisa ky’Omukama,
Nkutendereze nkwebaze ggwe eyannonda.
Nnafuuka mwana mu nyumba yo nze gw’oyoleka eby’ekisa,
Mu mwana wo Yezu mu maaso go ndi mwana muganzi,
Mu bwakabaka bwo olw’oyo nange bwentyo nnafuuka musika!
Verses:
- Ng’oli wakisa nnyo Mukama, ddala wamma kyewuunyo;
Ggwe okuganza nze kyava ku ki? Ssebala butukirivu ….a…..a……a…….
Mu maaso go ssetenda; kubwange nze ani?
Sso ggwe n’olonda mbeere mwana wo ate muganzi!
Waggya mu kisa kyo Lugaba, ggwe n’ojja n’onnoonya.
- Nkwebaza obutassa Mukama, leka gw’oganza nnyimbe;
Nga ndowooza ggwe by’onkolera.
By’olaga bisukkirivu by’amannyi, ebikuuno byo bingi nnyo, okulojja tebiggwayo!
Anti abakweyuna obayamba n’oba essanyu lyabwe;
N’okubagiza abanaku abo bonna n’obajuna.
- Ddunda omwagazi ng’otegeka! Entereeza zo Lugaba
Zonna zibe nga bw’olonda
Tozibirwa n’akatono …a…..a…..a…….anaakugaana y’ani? Muyinza teesanga.
Tuusa by’oteesa, oli wa buyinza ggwe mutonzi;
Nkusaba kimu ku nnyweza ompe okukiriza.
- Omberedde wa kisa nnyo okuva obuto bwange,
Nebwennali sinnabawo, ekisa kyo nekintegekera ekkubo lyange
Mu kkyo ggwe mwe waggya ne mbaawo.
Ne munsi munno nga nnamaga, ongoberez’ amaaso ag’ekisa.
Nnaatenda ntya? Nnaalojja ntya? Leero nnaayimba ntya?
- Sso ne bwe nkuyimba sikoma, akulojja bw’atyo era
Omutonzi ggwe taakumale.
Ssebirungi ossukulumye, wekka omu
Kitiibwa kyo kijudde, muyinza ggwe byonna.
Taata osaana ettendo n’omwana wo oyo omu Kigambo
Nga muli kimu ne Mwoyo leero n’ebulijjo.
0 Comments