NNAMUGEREKA KATONDA OMUKUUMI WANGE BY Ponsiano Kayongo Biva

Chorus:

      

Soprano:

Nnamugereka Katonda Omukumi wange,

Ggwe buggaga bwenterese;

Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange.

Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera yange;

Mukama essubi ly’abanoonya,

Nnyweza nkuweereze, nkutuuke gy’obeera.

 

Alto:

Namugereka, Namugereka ggwe, byonna ebyange;

Biri mu ggwe, ggwe busika obwange,

Mberera muyambi ggwe, ba mpeera yange;

Mukama essubi ly’abanoonya,

Nnyweza nkuwereze, ntuuke gy’obeera.

 

Tenor:

Namugereka Katonda, ggwe buggaga bwenterese;

Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange,

Ggwe alibeera empeera eyange,

Mukama essuubi ly’abanoonya,

Nnyweza ntuuke gy’obeera.

 

Bass:

Namugereka Katonda, ye ggwe byonna.

Biri mu ggwe byonna, ggwe busika bwange,

Ggwe nyamba obe empeera yange;

Mukama essuubi ly’abanoonya,

Nnyweza ntuuke gy’obeera.

 

            Verses

  1. Jjinja ery’omuwendo erinnonyezebwa wonna Ye ggwe ayi Mukama.

Akusanga aba yeesimye ggwe anti Entabiro y’ebirungi byonna;

Ssegomba bitiibwa bya nsi enno, Buggaga na masanyu gabyo,

Bayita kkuutwe; ayi Mukama w’oli biba kantu ki?

 

  1. Ku bakwemaliza ggwe ssanyu ye ggwe dembe, Ggwe maanyi ga balwanyi

Abakuwereza olibaweera, ggwe Ow’obwenkanya omuzirakisa

Abakwesiga – tebaliswaala.

 

  1. Abakweyuna abo beesimye balimatira, Balijuka ki?

Balibulwa ki ate abakusenga nga ggwe olina byonna?

Ggwe nnyini byonna, ggwe ntabiro,

Ensulo y’ebirungi eby’olubeerera.

 

  1. Nzuuno nno, obulamu bwange mbuuza wuwo,

Mu kissa kyo, ggwe wantonda, Nneewa ggwe leero.

Ggwe Nnantalemwa, Ggwe nsinza Mukama wange,

Nzuuno nsenza mbe naawe.

 

  1. a)  Ombeereranga kikubagizo,

Ttala ey’okumulisa mu makubo gange.

  1. b) Mu lutalo lw’omunsi muno onnyambanga,

Notandeka kugwa mu mikono gy’abalabe bange.

  1. c) Onnyambanga n’omukono gwo ogwa ddyo,

Nompa okuwangula abalabe bange.

  1. d) Onnywezanga n’eneema yo etaremwa Mukama,

N’onnyamba nenkuweereza.

  1. Ng’obwomunsi buweddeko ontwalanga gy’obeera, N’ombalira mu babo.
Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?

Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [66.23 KB]

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *