Chorus:
Nzennesiga Ddunda Mukama wange. Buli ekiggwawo buli ekirijja siri nyeenya nyweredde ku ggwe Mukama wange (Mukama wange) buli ekiggwawo, buli ekirijja sirinyenya nyweredde kuggwe Mukama wange.
Verses:
- Mmwe ensi zonna musaakaanye nessanyu, mukube emizira nga mugulumiza erinnya ly’Omukama. Ngalissusse lya magero ngalissusse lya magero, n’obuyinza bwe tebuddirira.
- Mmwe ensi zonna musaakaanye nessanyu, mukube emizira nga mutunuulira ebikuuna by’Omukama. Nga bissusse bya magero, Nga bissusse bya magero, n’obuyinza bwe tebuddirira.
- Mmwe ensi zonna musaakaanye nessanyu, mukube emizira nga mugulumiza obukulu bw’Omukama. Nga bussusse bwa magero, Nga bussusse bwa magero, n’obuyinza bwe bussukkirivu.
- Mmwe ensi zonna musaakaanye nessanyu, mukube emizira kubanga alamuza ddembe na buyinza. Ngakirungi kya magero nga kirungi kya magero, n’obuyinza bwe bussukirivu