WULIRA AKUYITA

Wulira akuyita omukama akwagala;
Genda gy’ali omukama akwagala
Wulira akuyita omukama akwagala;
Okwagala okusinga awo oli kusanga wa ggwe!
1.    Wulira omukama agamba;
Nnajjirira kunoonya ababuze,
Mujje gyendi ababonaabona;
Nnaabawummuza.

2.    Anti Yezu ge maanyi g’abalwana;
Bw’aba naffe tuba bagumu nnyo
Anti Yezu lye ssanyu ly’abalungi
Era ge maanyi mu banafu abakooye.

3.    Wulira era nno okwagala okuyinga
Yezu yalonda asigale naffe!
Era ali awo amazima akulinze;
Kale genda weyolekeyo ggwe.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *