YE MMWE KITANGAALA

Ye mmwe kitangaala eky’ensix2
Mwakirenga mu nsi muno, mwakirenga mu kizikiza,
Balabe ebikolwa byammwe ebirungi,
Batende kitammwe, kitammwe ali mu ggulu eyo.
1.    Nze kitangaala eky’obulamu, nze kitangaala eky’obulamu
Anzikiriza tatambula mu nzikiza, tatambula mu nzikiza abeera n’ekitangaala eky’obulamu.

2.    Mukama ye nze gw’ojulira, mukama ye nze gw’okolera,
Angoberera  tatambula mu nzikiza, tatambula mu nzikiza abeera n’ekitangaala eky’obulamu.

3.    Tandika leero kye nkutumye, twalayo bye nkutumye,
Buli ky’okola totambula mu nzikiza, totambula mu nzikiza, obeera n’ekitangaala eky’obulamu.

4.    Nyiikira kola kyenkusaba, weetale yonna gyenkutumye, omubatize
tatambula mu nzikiza, tatambula mu nzikiza abeera n’ekitangaala eky’obulamu.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *