YEZU YATWAGALA (Fr. Expedito Magembe)

Soprano Bass
Ekidd.:Yezu yatwagala Yatwagala Yezu n’ayitiriza
N’ayitiriza Yezu Yaganza be yalonda n’ayitiriza.
N’ayitiriza.

1. Ku olwo yatwagala Yezu n’ayitiriza
Okutwewa kye kirabo kye yalondawo
Ka tumwebaze Omukama olw’omukwano gwe.

2. Yatugamba ewa Kitaawe ebifo gye biri
Bye yategeka olw’abo be yalondamu
Babeere ne Katonda oyo mu kitiibwa kye.

3. Yatugamba talituleka bamulekwa
N’atusuubiza okutuwa Mwoyo atugumye
Bwe yasuubiza Abatume n’abamumanyi.

4. Yatulagira ffenna okwagalana,
N’atulagira okukola kye yali akoze
Bwe yakuutira Abatume n’abamumanyi.

5. Bwe yali addayo Abatume ng’abasiibula
N’abasigira byonna n’Obuyinza bwe
Kwe kubasaba okukola kye yali akoze.

6. Mulye ku Mugaati guno ogw’olubeerera
Munywe ku Kikompe kino ekisonyiyisa
Kye Kitambiro ekiggya kye mbaleetera.

DOWNLOAD LINK:
YEZU YATWAGALATWANDIBADDE TUTYA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *