AGULUMIZIBWE OMUKAMA(Fr. Expedito Magembe

Ekidd: Agulumizibwe Omukama emirembe gyonna oyo Omutonzi
Afuga enkulungo y’ensi na byonna ebirimu.

1. Laba omugaati gw’otuwadde guva mu ttaka
Ng’agukoleredde ye muntu obuntu;
Kati gwe tutoola ne tukuwa
Gutuviiremu obulamu obw’olubeerera.

2. Laba n’evviini eno gy’otuwadde
Mu mizabibu ffe mwe tugiggye!
Gye tukuweereza efuuke ekyokunywa
Kituleetere obulamu obw’olubeerera.

3. Tuyimbye omwoyo omwetowaze
N’omutima oguboneredde;
Siima Ekitambiro kye tukuwa,
Kikusanyuse ayi Mukama.

DOWNLOAD LINK:
AGGULUMIZIBWE OMUKAMA

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password