AMAKULA GO TULEETA

Amakula go tuleeta, (3)
Ewuwo Kitaffe atwagala….Ddunda
Omugaati n’eviini
Amakula go tuleeta…..Amakula go Ddunda
Amakula go tuleeta…..Amakula go
Amakula go tuleeta….N’ebirungi byonna bye
Ewuwo Kitaffe atwagala ….tufunye
Tubikuddiza, ggwe Kitaffe ……….                Ggwe atwagala Ddunda  Ddunda Kitaffe.
1.    Kino kya kitiibwa, Mukama Katonda mu baana be!
Wamma kya kitiibwa abumumanyi
Lwe tujja gy’ali okwebaza omutonzi
Tunaamuwa ki, kye tulina? Tunaamuwa ki, ffe abaana be?
Ka tumuddize kw’ebyo byatuwa
Okumwebaza ffe byatukolera.
2.    Kino kya kutenda, Mukama Katonda mu baana be!
Wamma kya kutenda obutamala
Nga tuzze gy’ali twebaze omutonzi
Tunaamuwa ki, kye tulina? Tunaamuwa ki, ffe abaana be?
Ka tumuddize obulamu bwatuwa
Okumwebaza ffe byatukolera.

3.    Kino kya kuyimba, Mukama Katonda mu baana be!
Wamma tumuyimbe ffe abumumanyi,
Ffe abazze gy’ali twejaga ddala nnyo.
Tunaamuwaki, kye tulina? Tunaamuwa ki, ffe b’ayise?
Ka tumuddize emitima gy’atuwa,
Okumwebaza ffe byatukolera.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *