AMAKULA GO TULEETA (Fr. James Kabuye)

.

Ekidde: Amakula go tuleeta, (3)
Ewuwo Kitaffe atwagala Ddunda Omugaati n’evviini
Amakula go tuleeta ……..amakula go Ddunda
Amakula go tuleeta … amakula go
Amakula go tuleeta … n’ebirungi byonna bye
Ewuwo Kitaffe atwagala ….tufunye
Tubikuddiza, Ggwe Kitaffe Ggwe atwagala Ddunda
Ddunda Kitaffe.

1.Kino kya kitiibwa, Mukama Katonda mu baana be,
Wamma kya kitiibwa abamumanyi,
Lwe tujja gy’ali okwebaza Omutonzi
Tunaamuwa ki kye tulina? Tunaamuwa ki ffe abaana be?
Ka tumuddize ku ebyo by’atuwa, okumwebaza ffe by’atukolera.

2.Kino kya kutenda Mukama Katonda mu baana be,
Wamma kya kutenda obutamala, nga tuzze gy’ali twebaza Omutonzi
Tunaamuwa ki kye tulina? Tunaamuwa ki ffe abaana be?
Ka tumuddize obulamu bw’atuwa okumwebaza ffe bya’tukolera.

3.Kino kya kuyimba Mukama Katonda mu baana be,
Wamma tumuyimbe ffe abamumanyi, ffe abazze gy’ali twejaga ddala nnyo
Tunaamuwa ki kye tulina? Tunaamuwa ki ffe b’ayise?
Ka tumuddize emitima gy’atuwa, okumwebaza ffe by’atukolera .

DOWNLOAD LINK:

AMAKULA GO TULEETA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *