BIIBINO FFE TUBIREETA

Biibino ffe tubireeta, ebirabo ebyaffe biibino
Biibino ffe tukuddiza, ku by’otugabira Kitaffe bisiime.
1.    Katonda Lugaba tukwebaza
Ebirungi by’otuwa olutata
Twetabe wamu tukuddize.
2.    Olw’obulungi bwo ayi Mukama,
Osaanira kutenda lutata
Abatonde bo tuutuno.
3.    Ku bingi by’otuwa ktukuddiza
Ze nsimbi n’emmere bye tutona
Kye tukusaba bikkirize.
4.    Omugati gw’okulyaguuguno,
N’evviini ey’okunywa ssebo siima,
Olw’Omwaana wo mwe tuyita.
5.    Omuzirakisa tuwulire,
Kye tukusaba kiikino
Tukutuukeko egyo gy’osula.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *