BYE BINO by Fr. James Kabuye

Chorus
Byebino,  ……….Lugaba Ddunda,
ebirabo byo Ddunda……..bitwale

Bye tuleese ffe nga tujaganya, ffe abaana bo, Ddunda katonda……..bisiime.

Tunaakuwa ki ggwe…….ekisaana,

Tunaakuwa  ki ffe…….. abaavu,

Mpozzi kitaffe…(mpozzi Taata)…….katuleete evviini gy’otuwa.

Mpozzi kitaffe …(mpozzi Taata)….katuleete omugaati gw’otuwa.

Mpozzi kitaffe …(mpozzi Taata)….katuleete essente z’otuwa

Mpozzi kitaffe …(mpozzi Taata)….katuleete kumagoba g’otuwa.

Tubigatteko obulamu obwaffe, bye birabo byaffe ebya leero.

 

Bass/ Tenor                                                                Sop/ Alto

  1. Ekibiina kyonna sanyu Ddunda……… kirina essanyu Ddunda mu maaso go

Amakula go tuleeta sanyu Taata ffe lyetulina……galaze essanyu taata ffe lye tulina

Ffe nna kuddiza Ddunda buganzi, katonda waffe ggwe osaana, osaana kutendwa Ddunda Lugaba asinga.

 

  1. Ekibiina kyonna, Dddunda,……tuzze kwebaza Ddunda ffe by’otuwa,

amakula go tuleeta; ddiza Ddunda abitegeka ….. kuba kuddiza Ddunda abitegeka

ffe nna kuddiza Ddunda buganzi, katonda waffe ggwe osaana, osaana kutendwa Ddunda Lugaba asinga.

  1. Ebirungi byonna Sssebo bingi……. by’otuwa Ssebo bingi otwagala;

Amakula ge tuleeta, Ddunda ebtone byo….. kuba kwebazaa Ddunda ebitone byo.

ffe nna kuddiza Ddunda buganzi, katonda waffe ggwe osaana, osaana kutendwa Ddunda Lugaba asinga.

  1. Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama asiima ebyaffe…tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama ali wano naffe … tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama ayamba abanaku … tukwe nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama asobo;a ebingi … tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama abifuga ebingi … tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tukwesiga nnyo Ggwe Mukama asobola ebingi … tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tukwesiga nnyo Ggwe Mukama atumanyi abaanatukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tunaajula ki w’oli Mukama w’oli naffe? … tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tunaajula ki w’oli Mukama w’oli kitaffe? … tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Tunaajula ki w’oli Mukama Ddunda kitaffe? … tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.

Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?
Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [153.65 KB]

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password