BYEBINO EBIRABO DDUNDA

Byebino, Lugaba Ddunda, ebirabo byo Ddunda……..bitwale
Bye tuleese ffe nga tujaganya, ffe abaana bo, Ddunda katonda……..bisiime.
Tunaakuwa ki ggwe…….ekisaana?
Tunaakuwa ki ggwe……..ffe abaavu?
Mpozzi kitaffe……..katuleete evviini gy’otuwa.
Mpozzi kitaffe …….katuleete omugaati gw’otuwa.
Tubigatteko obulamu obwaffe, bye birabo byaffe ebya leero.

Bass/ Tenor                        Sop/ Alto
1.    1. Ekibiina kyonna………     kirina essanyu Ddunda mu maaso go
Amakula go tuleeta…….galaze essanyu taata ffe lye tulina
Okuddiza Ddunda omuganzi, katonda waffe ggwe osaana, osaana kutendwa Ddunda Lugaba asinga.

2.    Ekibiina kyonna,……tuzze kwebaza Ddunda ffe by’otuwa,
Amakula go tuleeta…….. kuba kuddiza Ddunda abitegeka
Okuddiza Ddunda …………………..
3.    Ebirungi byonna……. by’otuwa ssebo bingi otwagala;
Amakula ge tuleeta,….. kuba kuddiza Ddunda abitegeka
Okuddiza Ddunda…………

4.    Tukwebaza nnyo ggwe mukama asiima ebyaffe……….tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo Namugereka.
Tukwebaza nnyoggwe mukama ali wano naffe………….
Tukwebaza nnyo ggwe mukama akuuma abanaku……………..
Tukwebaza nnyo ggwe mukama abibaza ebyaffe………….
Tukwebaza nnyo ggwe mukama asobola ebingi………….
Tukwebaza nnyo ggwe mukama atumanyi abaana………..
Tunaajula ki w’oli mukama Ddunda kitaffe…………

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password