Ekidd.: Ddunda oyo Katonda, ndimuwa ki, ndimuwa ki?
Ddunda oyo Katonda ndimuwa ki, ndimuwa ki?
Sirina era nze kiyinza kugatta eyantonda, eyanjagala
N’afa ku musaalaba, n’ava awo, n’ambiita, n’anfuula Omukristu,
Ebbanja nnina ddene nnyo okuwaayo byonna bye nnina
Ebbanja nnina ddene nnyo okuwaayo byonna bye nnina
1.Ka ntoole ku bibala eby’entuuyo Mbiwe oyo Taata era taleeme kubisiima
Mbiwe oyo Taata era taleeme kubisiima
Tusituke, tubimukwase era taleeme kubisiima
Tugendeyo, tubimukwase era taleeme kubisiima
Tusembere, tubimukwase era taleeme kubisiima
Twesike nno era taleeme kubisiima
Trinita Omutuukirivu ebyaffe bisiime x2 Era ……….
Bino bye tuleese kye kitundu ky’Ekitambiro x2 Era ……..
Ffe okujja mu Missa, tuzze kutambira x2 Era taaleme kubisiima
Bonna: Ffe okujja mu Missa, tuzze kutambira.
DOWNLOAD LINK:
DDUNDA OYO KATONDA