Ddunda tusaasire, ffe abajja gy’oli n’ebitone
Ddunda bikkirize, ebiva mu ffe ggwe nno b’olonze.
- Tuzze gy’oli kitaffe ggwe Katonda, Ye ggwe atasingwa bukulu.
Siima twala ebitone bye tuleeta, byonna siima ssebo bikuwe ekitiibwa kyo.
- Tuzze gy’oli alamula buli kantu, byonna bisaanye bikutende.
Teri mu ebyo ebitonde kikusinga, byonna ggwe obifuga byonna bikugondera.
- Yiino eviini gye tuwa n’omugaati, by’ebyo by’osiima mu bantu bo.
Kristu ye bye yeeyamba n’atugamba, yonna nze mbatuma mukole nga kyenkoze.
- Tuzze gy’oli Kitaffe Gwe atubumba, ffenna abaavu nno lunkupe.
Tuzze twesiga ssebo okuyambwa, byonna siima ssebo otuwe bye twetaaga.